Skip to content Skip to footer

Eyali Ssabasumba w’Obusumba bw’e Mbarara afiiridde ku gy’obukulu 79

Mike Sebalu

Eyali Ssabasumba w’Essaza ekkulu ely’e Mbarara Paul Bakyenga afudde.

Ono affiridde wali mu dwaliro ekkulu e Nsambya gyeyabadde aleteddwa okuddamu okumwekebejja embeera y’obulamu bwe.

Omusumba Bakyenga, afiiridde ku gy’obukulu 79.

Okusinziira ku kiwandiiko ekitereddwako omukono Chancellor w’obusumba bw’e Mbarara Fr Balikuddembe Mukasa, enteekateeka y’okuziika etandise okukolebwako.