Amawulire
Abantu abatanamanyika muwendo bafiiridde mu Nyanja Nalubaale
Bya Juliet Nalwooga, Poliisi y’oku mazzi etandise okunoonya n’okutaasa abantu oluvannyuma lw’akabenje k’eryato akaaguddewo ku makya ga leero ku nnyanja Nnalubaale. Ekikangabwa kino kyaguddewo oluvanyuma lwe ryatto elibadde ligenda mu town council Katabi mu disitulikiti Wakiso nga liva e Lwanabatya ne Ntuuwa mu disitulikiti ye […]
Ssabiiti yénsi yonna eyókuyonsa etandise leero
Bya Catherine Ageno, Minisitule y’ebyobulamu ng’eri wamu n’ebanywanyi baayo olwaleero bagenda kutongoza wiiki y’okuyonsa mu nsi yonna. Kino wekijjidde nga Uganda olwaleero yeegasse ku nsi yonna okukuza wiiki y’ensi yonna ey’okuyonsa abaana etandika okuva nga 1-7 August 2023 ne kigendererwa ekyokumanyisa abantu ku bukulu bw’okuyonsa […]
Tayebwa asabye amawanga mu Great Lakes
Bya Prossy Kisakye, Omumyuka wa Sipiika wa Palamenti, asabye gavumenti z’amawanga agali mu great lakes region, okuteekawo enkola eyinza okuyamba mu kuyikuula eby’obugagga eby’omuttaka. Thomas Tayebwa alaga nti mu kiseera kino abasima eby’obugagga eby’omu ttaka tebalina busobozi kunoonyereza ku by’obugagga eby’omu ttaka mu bitundu byabwe […]
Museveni asuubirwa okutongoza entekateeka ya UN kubavubuka
Bya Kankiriho Obed, Omukulembeze weggwanga YK Museveni asuubirwa okutongoza enteekateeka y’ekibiina ky’amawanga amagatte ng’essira eriteeka ku bavubuka mu kukuza olunaku lw’abavubuka mu Ggwanga mu Disitulikiti y’e Kabale. Kaminsona avunanyizibwa kunsonga z’abavubuka n’abaana mu minisitule y’ekikula ky’abantu, abakozi, n’enkulaakulana y’embeera z’abantu, Mondo Kyateeka, alangiridde bino mu […]
Abasawo basazizaamu akeeddiimo kaabwe akabadde katandika olwaleero
Bya Mike Sebalu, Abasawo wansi w’ekibiina ekibagatta mu ggwanga ekya Uganda Medical Association (UMA) balangiridde nga bwebayimiriza akeeddiimo kaabwe akabadde katandika olunaku lwaleero. Kino kiddiridde gavumenti okulowooza ku ky’okusindika abatendekebwa mu by’obujjanjabi 1,900 mu bifo 58 eby’okutendekebwa okwetoloola eggwanga. Okusinziira ku Dr. Herbert Luswata, Ssaabawandiisi […]
Abasenze basse nnyini ttaka ne bba e Mubende
Bya Barbara Nalweyiso, Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Kilwanyi ekisangibwa mu gombolola ye Kiruuma e Mubende abasenze bwebakakkanye Ku mukayala nnyini ttaka erisangibwa Ku Block 60 plot 1 ne bamutta wamu nebba. Abagenzi kuliko Naava Milly Namutebi ne bba Kayizzi Abdullah nga bano okuttibwa babadde […]
Kabaka yenyumiriza mu nkulakulana etuukiddwako mu Bwakabakabwe
Bya Prossy Kisakye, Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebe 11, yeenyumiriza mu nkulaakulana y’embeera z’abantu n’ebyenfuna ebitukiddwako mu bwakabakabwe. Bino abyogeredde mu Lubiri e Mengo bwabadde ajjaguza okuweza emyaka 30 ngatudde ku Nnamulondo alamula obuganda. Kabaka agamba nti bukya obwakabaka buzzibwawo ebintu bingi ebibadde bigenda […]
KABAKA- Emyaka 30 nga atudde ku Namulondo
BY MIKE SEBALU Abantu abasoba mu 3000 bebasuubirwa okwetaba ku mikolo gy’okujjukira amatikkira ag’omutanda Ronald Muwenda Mutebi II ag’omulundi ogwa 30 egitegekeddwa leero mu Lubiri e Mengo. Sentebe w’akakiiko akateesiteesi David Mpanga agamba nti ku mulundi guno abantu ba beene okuva masaza gonna ag’a Buganda […]
Okulungana lwábakulembeze abókuntiko mu FDC lutandise wakati mu byókwerinda
Bya Juliet Nalwooga, Olukungaana lw’abakulembeze abókuntiko mu kibiina kya FDC olwa national council lutandise ku kitebe ky’ekibiina e Najjanankumbi mu Kampala ekya ya leero yadde nga ambeera essoose kuba ya bunkenke era nga ne poliisi eyitibwa okukuuma e mirembe. Olukungana luno lugidde mu kaseera nga […]
Kkooti esuubira okusalawo mu kusaba kwa Minisita Lugoloobi
Bya Ruth Anderah, Kkooti ekola kumisangogy’obulyake n’obukenuzi olwaleero esuubirwa okutunula munsonga ya Minisita ow’ebyensimbi Amos Lugoloobi gyeyateekayo nga asaba okumukakanyiza kubukwakulizo obwamusibwaako olw’emisango ejimuvunaanibwa. Omulamuzi Pamela Lamanu, olwaleero asuubirwa okusalawo kunsonga eno okukakanyaamu kubukwakulizo oba okubulekawo. Nga enaku z’omwezi 4/07/2023 minister Amos Lugoloobi lweyasaayo okusabakwe […]