Amawulire
Aba NEED bawagidde Museveni kubya Banka yénsi yonna okusazaamu Obuyambi
Bya Prossy Kisakye, Ekibiina ekiri ku ludda oluvuganya ki National Economic Empowerment Dialogue-NEED kiwagidde pulezidenti Museveni okusalawo nti Uganda tekyetaagisa kwesigama kunsimbi enewole okuva mu Banka y’ensi yonna okukulaakulana. Kino kiddiridde bbanka eno okulangirira nti egenda kuggyayo ensimbi zaayo mu pulojekiti enkulu ez’enkulaakulana mu ggwanga […]
Abakugu mu bya technologia balina essuubi
Bya Ndaye Moses, Abakugu mu by’atechnologia balina essuubi nti enkulakulana ezze mu kisaawe kye byatechnologia yakwongera okuyambako Uganda okutuuka ku ddaala lya mawanga agali yadde yaddeko we tunaatuukira mu mwaka gwa 2040 Akulira ekibiina kya MasterCard foundation for East Africa Shahryar Ali asabye gavumenti okukola […]
Abalwanirira obukuumi bwókuluguudo baliko byebasabye Gavt
Bya Prossy Kisakye, Omukago ogutaba ebitongole by’obwanakyewa ebitakabanira enkozesa y’enguudo ennungi ogwa Road Safety Advocacy Coalition Uganda, gwagala government eddemu yeetegereze obukugu obukozesebwa mu kuzimba enguudo, enkola y’emirimu gya police mu kukwasisa amateeka, n’obukugu bwabanonyereza ku bubenje nti byaliba nga byebimu ku bikyasibye obubenje okweyongera […]
Obutaala bwa Solar bulunji mukukwata ebyényanja- Okunoonyereza
Bya Mike Sebalu. Waliwo okunoonyereza okukoleddwa banna Science okukizudde nti okukozesa obutaala obukozesa amasanyalaze aga solar mu kuvuba bwekitalina bulabe ate nga kitaakiriza nóbutonde bwénsi eri abavubi ku Nyanja eya Muttanzige wamu ne Nalubaale. Obutaala obukozesebwa mu kuvuba emirundi mingi buyambisibwa mu kuvuba ebyneyanja nga […]
Abaana abaliko obulemu bafunye ababadduukilira
Bya Mike Sebalu. Ministry yébyenjigiriza némizannyo’ngékolaganira wamu nékitongole ki Kampala Capital City Authority, baliko omukago gwebasse nébitongole binakyewa 14 okusobola okutuusa obuweereza mu byénjigiriza eri abaana abaliko obulemu okwetoloola amasomero gábaana ekika kino mu bitundu ebya Kampala. Amasomero agagenda okuganyurwa kwekuli elyábaana abalina ekizibu ky’okuwulira […]
Kkooti enywezeza ekibonerezo ku Musajja eyasobya ku mwana atanetuuka
Bya Ruth Anderah, Kkooti ejjulirwamu mu kampala egobye omusango Taata eyasalibbwa ekibonerezo ekyókusibwa emyaka 26 oluvannyuma lw’okusingisibwa omusango gw’okusobya ku mwana wa mukaziwe mujja-nannyina ow’emyaka 8. Mugerwa Paul eyali ow’emyaka 36 mu kiseera ekyo yasalirwa ekibonerezo kya kusibwa emyaka 26 oluvannyuma lw’okusingisibwa omusango gw’okuyonoona muwala […]
Kkooti eyimirizaamu okuwuliriza omusango gwa Minisita Kitutu
Bya Ruth Anderah, KKooti eyimiriza okuwulira omusango oguvunanibwa minisita wa Karamoja Marry Gorreti Kitutu ogw’okukozesa obubi ebintu bya gavumenti bweyedizza amabaati agaali galina okuyamba abantu bekaramoja abawejere. Omusango guno guyimiriziddwa omulamuzi wa kooti ewozesa abali benguzi Jane Kajuga nga yesigama kunsonga za Marry Gorreti Kitutu […]
Ababaka bawabudde Gavt oluvanyuma lwa Banka yensi yonna okusazaamu Obuyambi
Bya Prossy Kisakye, Ababaka ba palamenti basabye gavumenti eyongere okukekkereza mu nsaasaanya yaayo nga Banka y’ensi yonna yakamala okulangira enteekateeka z’okukomya okuwagira Uganda mu by’ensimbi olw’okussaawo etteeka erirwanyisa ebisiyazi. Banka eno ejuliza nti etteeka lino likontana nnyo n’empisa ya Banka y’ensi yonna n’okwolesebwa kwabwe. Okulangirira […]
Omudumu gwámafuta Oguzimbibwa okugenda e Tanga sigwakuyimirira
Bya Juliet Nalwooga, Minisitule y’amasannyalaze n’eby’obugagga eby’omu ttaka egamba nti entekateeka eyókuzimba omudumu gwámafuta ogugenda e Tanzania tegenda kukosebwa yadde banka yensi yonna yalangiridde nga bwetagenda kudamu kuwa Uganda buyambi. Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku media center olwaleero, minisita omubeezi avunaanyizibwa ku by’amasannyalaze n’eby’obugagga eby’omu […]
Poliisi e Kyankwanzi awenja abatemudde Nnamwandu
Bya Ronald Ssenvuma, Police mu district ey’e kyankwanzi ebakanye nedimo eryokunonyereza ku ttemu erikoleddwa ku Nnamwandu Nakamya Federesi nga kigambibwa nti yalumbiddwa abebijambiya 2 abaamutemyeetemye okutuusa lwebamumiziza omusu. Omwogezi wa police mu bitundu bye wamala Rachael Kawala bwabadde ayogerako eri abamawulire agambye nti ekikangabwa kino […]