Skip to content Skip to footer

Museveni akubiriza abavubuka okujjumbira technologia

Bya Ronald Ssenvuma,

Omukulembeze weggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni akkalaatidde abavubuka okujjumbira okusoma ebintu ebinabayamba n’okubasobozesa okufuna emirimo oba okujetandikirawo nebatamala gasoma muwawa.

Pulezidenti bino abyogeredde Kabale kusomero erya Kigezi primary school awali entiko yemikolo gy’okuza olunaku olwabavubuka

Pulezidenti agambye nti singa abavubuka banetanira okuyiga ebya tekinologiya ate nebafuba n’okwagala okukozesa omutimbagano kyakubayamba kinene nnyo kubanga mu biseera ebijja mu maaso ensi gyeyolekedde.