Bya Barbara Anyait,
Gavumenti yeyamye okwongera okussa ssente mu pulojekiti z’ebyenjigiriza ezigendereddwamu okutumbula abaana abawala n’okubawa emikisa gy’okuyigirizibwa emirimu gyo mitwe.
Bwabadde ayogerako eri bannamawulire mu Kampala ku mukolo gw’okukuza olunaku lw’omwana omuwala mu nsi yonna, minisita w’eggwanga ow’ensonga z’abavubuka n’abaana Sarah Mateke akubiriza abakyala abafuuse ekyokulabirako ekirungi mu bitundu byabwe okubuulirira abaana abawala mu bintu ebyenjawulo…
Bya Fred Muzale,
Wabadewo akalippagano k’ebidduka ku luguudo oluva e Kampala okudda e Mukono oluvannyuma lw’ekitongole ky’ebyenguudo ekya Uganda National Roads Authority (UNRA) okukyusa entambula okuva ku lutindo lwa Ssezibwa olwazeemu enjatika.
Ku wiikendi, ekitongole kya UNRA kyalemesezza mmotoka ennene okukozesa olutindo lwa Ssezibwa olumaze emyaka 70 ku luguudo oluva e Kalagi okudda e Kayunga.
Kino kyaddiridde olutindo…
Bya Prossy Kisakye,
Ekibiina ekiri ku ludda oluvuganya ekya Democratic Party kisabye gavumenti okukyusa mu tteeka erifuga okulonda obukiiko bwábakyala erya Women Council Act, okukkiriza okulonda kw’abakyala okukolebwa ku lunaku lwe lumu olw’okulonda kwa bonna.
Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku ofiisi z’ekibiina mu Kampala, Ssaabawandiisi w’ekibiina, Gerald Siranda agambye nti kino kyakuwummuza akakiiko k’ebyokulonda n’abalonzi obukoowu mu…
Bya Mike Sebalu,
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bibalo mu ggwanga ekya Uganda Bureau of Statistics (UBOS) kitegeezezza nti okubala abantu mu ggwanga kugenda okutandika nga 10 May 2024.
Bwabadde ayogerako ne Dembe FM, Dr Chris Mukiza, akulira ekitongole kino, agambye nti omulimo guno mu ggwanga lyonna gwakumala ennaku 10.
Nga July 16th, ekitongole kino kyasaba okuweebwayo obudde obulala okwetegekera…
Bya Mike Sebalu,
Abali ku ludda oluvuganya gavt mu Palamenti baagala gavumenti eyongere ku muwendo gw’abakadde abaganyulwa mu nsimbi ezibaweebwa buli mwezi ate ekendeeza ne ku myaka kwebalina okuzifunira.
Ensimbi zino zimu ku nteekateeka ya Social Protection Programme (ESP) eyassibwa mu nkola Gavumenti okuyita mu Minisitule yé kikula ky’abantu abakozi nembeera za bantu nga mu kiseera kino…
Bya Mike Sebalu,
Pulezidenti Museveni asanyukidde amawulire g’ekibiina ekitwala omuzannyo gwomupiira mu Africa ekya Confederation of African Football (CAF) okuwa amawanga 3 aga East Africa okuli Kenya, Tanzania ne Uganda omukisa okutegeka empaka za AFCON eginabaawo mu 2027, n’agamba nti kabonero akalaga omwoyo gwóbwa sseruganda.
Kino kiddiridde CAF olunaku lw’eggulo okulangirira nga bwekkiriza amawanga gano asatu okwegata…
Bya Ruth Anderah ne Juliet Nalwooga,
Palamenti ekkirizza okufuna ensala ekwata ku mubaka wa munisipaali y’e Mityana Francis Zaake okuggyibwa kubwa kamisona bwa Palamenti.
Kkooti ya Ssemateeka olwaleero erangiridde nti omubaka Zaake yagobwa ku bwa kaminsona mungeri emenya amateeka kuba sipiika wa Palamenti teyayolesa bwenkanya.
Abalamuzi bataano nga bakulembeddwamu Catherine Bamugemereire, Eva Luswata, Irene Mulyagonja, Muzamiru Kibedi ne…
Bya Ruth Anderah,
PULEZIDENTI w’ekibiina ekigatta bannamateeka ekya Uganda Law Society alajaanidde ekitongole ekiramuzi okutumbula obuvunaanyizibwa n’enfuga y’amateeka ng’engeri y’okussa ekitiibwa mu mugenzi eyasooka okuba ssaabalamuzi weggwanga Benedicto Kiwanuka.
Kiwanuka yatemulwa lwa kwagala n’okussa ekitiibwa mu nfuga y’amateeka, eddembe ly’obuntu n’obwenkanya.
Yakwatibwa n’effujjo basajja beyaliko omukulembeze weggwanga omugenzi Iddi Amin okuva ku yaffeesiye ku kkooti enkulu mu kampala,…
Bya Damali Mukhaye,
Akakiiko k’ebyokulonda ak’oludda oluvuganya gavumenti aka Forum for Democratic Change (FDC) akawungeezi ka leero kasunsudde senkagale wekibiina Patrick Amuriat ku kifo kye kimu.
Era mu balala abasunsuddwa ye Jack Sabiiti eyegwanyiza ekifo kya ssentebe w’ekibiina ate
Ssaabawandiisi Nandala Mafabi avuganya ku kifo kye kimu.
Okyukyusa obukulembeze mu FDC kwakubaawo nga 6th October mu Tabamiruka wékibiina.
Nandala mu…
Bya Barbara Anyait,
Minisita w’ensonga z’abalema mu minisitule y’ekikula ky’abantu, Grace Hellen Asamo alabudde abantu abeefudde abakugu mu lulimi lwa bakiggala ng’agamba nti babuzaabuza abantu n’ensonga z’okuwulira.
Bwabadde ayogerako eri bannamawulire mu Kampala ng’eggwanga lijjukira wiiki y’okumanyisa abantu bakiggala mu nsi yonna, Asamo agambye nti ebitongole bingi mu ggwanga bikozesa abavvuunuzi b’olulimi lwa bakiggala ab’ebicupuli, b’agamba nti…