Skip to content Skip to footer

Ababaka abakyala bongedde okulumiriza abébyókwerinda

Bya Ronald Ssenvuma,

Ababaka abakyala abakikirira okuva mu bitundu byeggwanga ebyenjawulo abamu ku batulugunyizibwa ab’eby’okwerinda bennyamidde olw’ebikolwa eby’okubatulugunnya ebize nga bibakolebwako ab’ebitongole ebikuuma ddembe.

Bino babyogeredde ku palamenti mukuwa ebirowoozo byaabwe n’okulaga obulumi bwe bayitamu n’abalonzi baabwe kwosa nokwasanguza abamu ku bakulu mu byokweridda ababatulugunya omuli ne ba RDC.

Olukiiko luno lukubiriziddwa omubaka wa district ye Adjuman Jessica Ababiku

Bano bagamba nti balemeseddwa ab’eby’okwerinda abali mu bitundu byebakikirira okutuusa obuwereza eri abantu abaabalonda.