Abantu 2 bagudde mu Nyanja Kwania nebafa oluvanyuma lw’elyato kwebabadde bavubira okubbira mu disitulikiti ya Apac.
Ssentebe w’ekyalo Wansolo David Okello agamba omuyaga ogwamaanyi gwayugumizza eryato kwebaabadde nebagwamu 2 nebafa 5 nebataasibwa.
Aduumira poliisi ya Apac Alfonse Ojangole abagenzi abamenye nga Patrick Opolot ne Peter Otekat nga bonna bava mu disitulikiti ye Ngora.
Poliisi egamba emirambo baagikwasizza dda abenganda zaabwe okugiziika.