Skip to content Skip to footer

Bannamateeka ba Besigye bakiise ensingo

Besigye addresses mediaBannamateeka ba munna FDC eyesimbyewo ku bwapulezidenti Dr Kiiza Besigye bavumiridde ekya kkooti enkulu okutumya fayilo y’omusango gwabwe ogubadde gulina okusalibwawo olunaku lwaleero.

Besigye ayagala poliisi egobwe mu makage gy’emusibidde bukyanga kulonda kuggwa nga era omulamuzi wa kkooti ye Kasangati Prossy Katushabe  y’abadde asuubizza okuwa ensala ye olwaleero.

Omulamuzi ono era yagobye okusaba kwamunnamateeka wa gavumenti Caroline Nabasa okugoba omusango guno nti kuba Besigye era yawaaba omusango gwegumu ne mu kkooti enkulu.

Wabula omu ku bannamateeka ba Besigye era loodi meeya wa Kampala  Erias Lukwago, agamba bakuyita mu makubo gonna agasoboka okulaba nga Besigye afuna obwenkanya.

Leave a comment

0.0/5