Skip to content Skip to footer

Omutanda ali Buddu

Bya Gertrude Mutyaba

Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi 11 kati mutaka mu ssaza lye erye Buddu gyeyatuuse akawungeezi akayise eranga gyeyasuze.

Kati embuutu zasuze zivuga mu ssaza lye Buddu nokubinuka amasejjere bwebabadde baniriza omutanda.

Ssabasajja yasiima okulabikako eri Obuganda olwaleero mu ssaza lye Buddu okuggulawo empaka z’amasaza ezomwaka guno.

Omupiira ogugulawo guli wakati we ssaza lya Mawogola ne Buddu wali mu kisaawe kya Masaka Recreation Ground.

Okusinziira ku mwogezi w’essaza ly’e Buddu Muhammad Muusa Matovu Kigongo, enteekateeka zonna zijiddwako engalo.

Omwogezi wa poliisi mu bendo-bendo ly’e Masaka akalaatidde abantu okubeera abegendereza wkati mu kubinuka nomutanda alabiseeko eri obuganda.

Afande Lameck Kigozi ategeeza nti abantu abasinga batera okusanyukira mu nguudo nebatataganye ebyentambula.

Kigozi agambye nga poliisi bakulaba nga tewali kigenda mu bukyamu.

Kigozi era asabye abatuuze okunyweza obukuumi bwabwe okukakas nti tebabbibwa wakati mu mikolo gya leero.

Alabudde nabagoba ba boda-boda obutataaganya ntambula.

Leave a comment

0.0/5