Bya Eria Lugenda-Kayunga
Ssentebe wakakiiko akafuga essomero amaaso gamumyuuse bwebamulumiriza okubba amabaati gavumenti geyawa essomero.
Ssentebe wakakiiko akafuga essomero lya Nongo C/U Primary School elisangibwa mu ggombolola ye Kitimbwa abazzadde, nga bakulembeddwamu Kaddu Ndereya bamutadde ku nninga mu lukiko olutudde ku ssomero, annyonnnyole gyeyateeka eminnwe gyamabaati 36 egyafikka
ku kizimbe gavumenti kyeyazimbira essomero.
Ono abazadde bamutabukidde nebayisa ekiteeso okugenda mu makaage ge era ngeeno amabaati gasangiddwa nga yagakomeleza enyumba ye nga gabaddeko ne Laama ya gavumenti, nasaba bamusonyiwe.
Kati tekinategerekeka ono kiki ekigenda okumukolebwako ngekibonerezo.