
Kkooti enkulu mu Kampala eyongezezzaayo ekiragiro ekikugira okumenya akatale ke Nakasero, era n’eragira akatale kano obutamenyebwa okutuusa nga 16 November 2015.
Ekiragiro kino ekiyisiddwa omuwandiisi wa kkooti Michael Otto era kigaana ne gavumenti okuwa ekiwayi kya Nakasero Market Sitting Vendors and Traders LTD ekikulembeerwa George William Kakooza liizi ya katale okutuusa nga November 16 omulamuzi Esta Nambayo lw’anawa ekiragiro ekirala.
Kino kiddiridde abasubuuzi abegattira mu kibiina kya Nakasero Market Sitting tenants LTD ekikulemberwa omuky. Faridah Cissy okugenda mu kkooti nga bawakanya obukulembeze bwa Kakooza kyokka nga gavumenti ebadde mu nteekateeka yakuwa ekiwayi ekikulembeerwa Kakooza liizi oluvanyuma lw’okutuukiriza ebisaanyizo ebyabasabwa omuli okusasula ssente akawumbi 1 n’obukadde 800.
Nansubuga yagenda mu kkooti n’ekiwayi kyakulembera ng’agamba nti bebanansangwawo ba katale era abakatandiikawo nga okuwa Kakooza liizi gwebamanyi ng’omugwira kubeera kubayisaamu maaso.
Kuno baagattako nti singa Kakooza aweebwa liizi boolekedde okujjibwamu ate bazze basikira ba nyabwe ne bajjajja bwe abatandikawo akatale.