
Poliisi mu disitulikiti ye Nebbi ekutte omufumbo w’emyaka 56 lwakwekakatiika ku mbuzi ya neyiba
Omusajja ono akwatiddwa ye Charles Onen omutuuze mu Gombolola ye Kwiyucwiny mu disitulikiti ye Nebbi.
Ayogerera poliisi mu bitundu bya WestNile Josephine Angucia agambye nti omusajja ono bwebamukunyizza teyegaanye era n’agattako nti ssi gwegusoose okukikola
Anyonyodde nti kati ono bamaze okufuna buli kimu ng’omusajja ono wakuggulwaako misango gyakukabasanya bisolo.