
Kkooti enkulu eyisizza ekiragiro ekiyimiriza aba NRM okuwandiisa Katongole singh ng’akutte bendera ya NRM e Rubaga mu bukiikakkono
Amyuka omuwandiisi wa kkooti enkulu Festo Nsenga y’ayisizza ekiragiro oluvanyuma lwa gweyawangula Brian Tindyebwa okumulumiriza okumubba mu kamyufu ate nga n’ebiwandiiko by’alina bikyaamu.
Tindyebwa nga munnamateeka agamba nti ebitabo bya Singh byakugatta bugassi kyokka ng’era tebiwera.
Katongole era alagiddwa okwewozaako mu nnaku 15 ng’omusango guno gwakuwulirwa nga 12 omwezi gwa December