
Pulezidenti Museveni n’eyali ssabaminista Amama Mbabazi bakutandikira kampeyini zaabwe mu bitundu bya Buganda
Museveni wakutandikira Luweero are nga yye Mbabazi agenze Masaka.
Mbabazi bw’ava eno wakudda Mityana n’oluvanyuma adde mu Kampala.
Okusinziira ku nteekateeka ewereddwa akakiiko akalondesa, Dr Kiiza Besigye wakusookera Mbale
Bonna byebasazeewo bakubiwa akakiiko akalondesa okwewala okukukwatagana nga bayigga akalulu
Kampeyini zino ez’okumala emyezi esatu zitandika ku lwa bbalaza wiiki ejja