Omubaka we Lwemiyaga mu palamenti Theodore SSekikubo azzeemu buto okulumba minisita Sam Kuteesa lwakulangirira ebikyaamu mu kamyufu
Ssekikubo agamba nti yadde yeeyawangula, kyamuweddemu Kuteesa okulangirira eyali amwesimbyeeko Patrick Nkalubo.
Ssekikubo agambye nti Kuteesa atandise okuyita mu bitundu ebitali bimu ng’amusiiga enziro n’okusaba abantu balonde Nkalubo ate gweyawangula.
Ssekikubo yalangirirwa ng’omuwanguzi mu kalulu akakwatibwa omwezi oguwedde yadde nga Nkalubo yawakanya ebyakavaamu.
Wabula akulira akakiiko akalondesa Tanga Odoi agamba nti tebanna kufunako kwemulugunya kwonna kuva eri ssekikubo nga yandiba ng’ali mu byabufuzi.