
Mu ggwanga lya South Sudan kizuuliddwa nti gavumenti n’abayekeera bonna bali mu kukungaanya byakulwanyisa kuddamu kulwana yadde nga bategeragana okussa wansi emmundu
Akakiiko k’ekibiina ky’amawanga amagatte akakola ku by’okwerinda keekategeezezza bino mu alipoota yaako gyekakoze.
Yadde nga guno bweguli , ab’omukago bagaanye okussa natti ku kuguza enjuuyi zombie emmundu.
Abantu abalu mu nkumi beebakafa bukyanga kulwanagana kutandika mu ggwanga lino mu mwaka gwa 2013