Bya Mbogo Sadat
Omuntu omu akakasidwa okuba nga afiiridde mu kabenje akagudewo mu kiro ekikeseza olunaku olw’aleero ku luguddo oluva e Kampala okudda e Mpigi n’abalala 10 ne babuuka ne bisago eby’amaanyi
Akabenje kano kabadde mu kitundu kye Mpigi bikondo zone mu district ye Mpigi
Akabenje kabaddemu emotoka 7, nga kuliko taxi 3
Okusinzira ku akola ng’omwogezi wa police mu Katonga Joseph Tulya, afudde ategerekese nga Owen Tendo dereva wa Toyota canter reg. no. UBB 583B ebadde etwala obutebe ne bimuli.
Ate abalumizidwa mu kabenje kano ku badeko Ismah Zziwa owe Maganjo mu Wakiso District, Esther Namulema owe Maganjo, Mariam Nalwoga, Deogratius Kalyango, n’abalala
Bano badusidwa ku ddwaliro erya Double Cure Medical Center e Mpigi Town n’abalala e Mulago okusobola okufuna obujanjabi
Okusinzira ku Tulya akabenje kavudde ku mugoba w’emotoka emu okufiira mu luguddo kati owa Loole bweyagezezako okuyamba ate nakola kye bayita double parking ekyavirideko akabenje.