Bya Joseph Kato-Kampala
Police eriko abasajja bayo 4 begalidde kubyekusa ku kutulugunya omusibe Godfrey Byamukama, omu kwabo abavunanibwa okutta eyali omwogezi wa police mu gwanga, Andrew Felix Kaweesi.
Omwogezi w police mu Uganda, Asan Kasingye, abakwate abamenye nga ASP Patrick Munanura, ASP Fred Tumuhirwe, Sgt Tumukunde ne Constable Ronnie Byenkya.
Police etegezezza nga Byamukama bweyakwatibwa ng’enaku zo’mwezi 5 mu mwezi gwokuna wano mu Kampala, ku Parliament Avenue bwatyo natwalibwa ku police e Nalufenya mu district ye Jinja.
Kati kigambibwa yalwanagana nabasirikale babiri abaali bamukutte oluvanyuma lweokukitegeera nti baali tebamutwala ku kitebbe kya poliisi e Naguru nga bwebaali bamugembye mu kusooka ekyamuvirako okufuna ebiwundu.
poliisi era etegezezza nga Godfrey Byamukama nga ye mayor wa Twon Council ye Kamwenge, poliisi etegezezza nti asibuddwa okuva mu ddwaliro e Nakaseero gyabdde agenda maaso okufuna obujanjabi nebategezza nga bwasusse wadde nga bakugenda maaso nomukeberangako.
Poliisi etegezezza nti okunonyererza kugenda maaso ku basirikale abakwatiddwa, abaali emabega webisago ebyatusibwa ku mayor.