Bya Ruth Andera
Omusajja agambibwa okufuyisa ku kubo awonye ekkomera oluvanyuma lwa kkooti ya City Hall okumusonyiwa.
Kawooya Isaac abadde ku alimanda e Luzira okuva ngennaku zomwezi 24th April ngasimbiddwa mu kkooti yekibuga etuula wali ku City Hall mu maaso g’omulamuzi we daala erisooka Moses Nabende wabula namwejereza.
Wabula bwabadde amuyimbula amulabudde obutadamu kweyisa mungeri etasaana, okufuyisa ku makubo ng’ebisolo.
Ono yakwatibwa nga 23rd April mu 2017 ngokuva olwo abadde mu kkomera e Luzira.
Abakwasisa amateeka mu kitongole kya KCCA bebakwata omusajja ono nebamuwalabanya okumutuusa mu kooti.