Bya Benjami Jumbe

Minister omubeezi owebyobuwangwa ne nonno Peace Mutuzo alagidde okusala embalu enonno yaba-Bagishu ekomezebwe.
Embalu nkola yabyabuwangwa mu Bagishu, omuvubuka okukeculwako eddiba ku kitundu kye ekye kyama nekigendererwa okumufuula omusajja owa ddala atukiridde.
Kati minister Mutuzo abadde ayogerako eri bannamawulire ku Media Centre aonyonyodde nti enkola eno erina okudibizibwa kubanaga erina engeri gyewebuula omuntu nokumumalamu ekitiibwa nebatuuka nokubakozesa byebateyagalidde.
Agambye nti waddenga ebyobuwangwa bigwana okusibwamu ekitiibwa naye ate buli ekikolebwa tekigwana kutyoboola ddembe lyabalala.
Awabudde nti okusala embalu kusaana kukolebwenga mu malwaliro mu bakuggu.