Bya Ivan Ssenabulya
E Jinja abawagizi ba munna FDC Paul Mwiru bajaganya, oluvanyuma lwebifulumye ebyekiseera ebiraga nti bali waggulu.
Eno abantu bakedde wakati mu nkuba okulonda , okubadde okwokuddibwamu, oluvanyuma lwa kooti okusazaamu okulondebwa kwabadde omubaka Nathan Igeme Nabeeta.
Okulonda kutambudde bulungi wakati mu nkuba etonyye, nebirumira ebitontono okusinziira ku ssentebbe wakakiiko kebykulonda omulamuzi Simon Byabakama.
Okulonda kugaddwawo ku ssaawa 10 ezolwe ggulo, era okubala obululu kukyagenda mu maaso.
Amawulire agavaayo era galaga nti owa FDC Paul Mwiru yakyaleebya.
Omuwanguzi assubirwa okulangirirwa ku ssaawa 4 ezekiro, okusinziira ku akuliddemu okulonda Rogers Sserunjogi.
Mu biralala ebibaddewo mu kusooka, ebitundu ebimu bibaddemu okulwanagana wakati wabawagizi ba NRM aba Nabeeta naba Mwiru.
Waliwo obululu obukwatiddwa nga butyikinge, nga bubadde bulaga nti balonze Nabeeta.
Mwiru yemulugunyizza, nga bwewabaddewo abakwata abantu be byetaddewo okukuuma obululu.
Wabula bino omwogezi wakaiiko Jotherm Taremwa, abiwakantyizza.
Ku bululu obukwatiddwa agambye nti babwekebejjezza nekizuuka nga bubadde bujingirire ssi bwabwe.

Bbo abalondodde okulonda kuno bagamba nti enkuba eyakakedde okuttonnya ekosezza ebimu ku byategekeddwa.
Ekiwandiiko ekivudde muba Citizens Coalition for Electoral Democracy in Uganda okulonda gyekwtandikidde ku ssaawa 2 ezokunmakya abantu babadde batono.
Kino bagamba nti kyekivuddeko abantu okweyiwa mu bungi ne line ezirabiddwako.
Omukwanaganya wemirimu mu mukago gwa CCEDU Crispy Kaheru nti era kuno kwekulonda okwokuddibwamu, okubaddemu absirikale abangi abakukuuma.
Agamba nti absirikale nga 30 bebabadde bakuuma ekiffo ekimu ekironderwamu.
Mu kasekati gekibuga naddala ku Main Street wabaddewo obuvuyo nokulwanagana wakati wabebyokwerinda nabantu babulijjo.
Wabaddewo era emivuyo gyokubba obululu, okugulirirra abalonzi naddala obululu obutikinge ebyogeddwako.
Eibisingawo tujja kubibatusaako mu mawulire gaffe aganaddako.