Bya Shamim Nateebwa
Poliisi ya CPS wano mu Kampala, ekutte omuwala agambibwa okubeera mu kibinja ky’ababba mu maduuka g’omu Kampala nga beefudde abaagala okugula ebintu.
Sharifa Nalubowa akwatiddwa ekitongole kya Flying Squad oluvannyuma lw’abamu ku babbibwako ebintu okumulumiriza.
Abasubuuzi bagamba emirundi mingi ono azze akwatibwa ku Camera ezasibwa mu maduuka, nga mu kizimbe kya KK Trust ku Namirembe Road zaamukwata nawalala.
Poliisi ekizudde nga Nalubowa bwalina fayiro z’emisango ku poliisi ez’enjawulo ezaggulibwawo abantu be yabba.
Munno mwemuli neyaggulwawo Flying Squad, e Kabalagala ku fayiro ngeno yabba Emma Ayebare neku Blue Room kigambibwa yabba Esther Ninsiima.