Bya Gertrued Mutyaba
Ebyalo ebisoba mu 10 mu district ye Lyantonde bikoseddwa kibuyaga era nga abantu bangi bafiiriddwa ebirime byabwe kko namayumba okumenyebwa
Ebyalo ebimu ku bikoseddwa kuliko Lyantonde rural Kooki A, B ne C, Kabatema, Kaliro, Kyamuyonga, Kasaka, Kyagalanyi n’ebirala.
Yye amyuka Omubaka wa President e Lyantonde Carol Kashaija agamba nti ofiisi ya RDC saako ne district bagenda kulaba engeri gyeduukiriramu abantu abaakoseddwa nga babongera ensigo