Bya Shamim Nateebwa
Abatuuze ku kyalo kye Kanyogogga wano e Kawanda mu gombolola ye Nabweru amakya galeero bagguddemu ekyekango bwe bagudde ku mulambo gw’omuntu atateegeerekese ng’atiddwa mu bukambwe ne bamuggyamu n’amaaso.
Omugenzi abatuuze babadde tebamumanyi mannyage wabula ng’abadde musajja mukulu wakati we myaka 45.
Omulambo guno guzuuliddwa Edward Ntege omutuuze mu kitundu kino nga gusuuliddwa mu kayumba ka chapati.
Poliisi okuva e Kawanda ng’eddumirwa Steven Komaketch akulira ebikwekweto bya poliisi ye Kawempe bekebejjezza omulambo nebazuula ngamaaso, gabadde gajiddwamu.
Abatuuze nga bakulembeddwa Mutebi Casmoto bategeezezza ng’ettemu bwelisusse mu bitundu ebye Kawanda ngono ye muntu owokuna okutemlwa.
Omulambo gutwalidwa mu gwanika lye dwaliro Ekkulu e Mulago, ngokunonyereza kugenda mu maaso.