Bya Ruth Anderah
Omumyuka wa ssabalamuzi we gwanga omugya, Alfonse Owiny-Dollo yetondedde egwanga olwokulwawo, okuwulira omusango oguli mu kooti ya ssemateeka negulyoka gukandalirira okutuuka olwaleero.
omulamuzi Dollo era yetondedde eyawaaba omusango guno munna NRM, Benjamin Alipanga ngawakanya okutigtika mu kawayiro 102(b) akateeka ekkomo ku myaka gyomukelmbeze we gwanga.
wiiki ewedde omulamuzi Dollo yayita Alipanga, ne banamateeka be 3 abakulemberwamu Fred Muwema, ssabawolererza wa gavumenti ne bannamateeka ba NRM omusango gusomebwe.
Kakaati omusango bwegubadde gutanadika okusomebwa bannamateeka ba NRM abakulembeddwamu Kiryowa Kiwanuka, nga ne sabawolereza wa gavumenti abadde akiriddwa Martin Mwambustya ne Alipanga bevumbye akafubo, akatakiriziddwamu banamawulire.
Kitegezeddwa nti bano basoose kubaako byebatesaako obanga ddala omusango guno gukyetagisa okuwlirwa.
kati oluvanyuma sabalamuzi alagidde enjuuyi zonna okuleeta alaipoota nga 6th November 2017, ku wa webayimiridde ku nsonga eno era oluvanyuma kooti yakulamula ekiddako.
Mu mwaka gwa 2014 Alipanga yaddukira mu kooti eya ssemateeka ngawakanya ekibiina kya NRM okukulembeza Yoweri Kaguta Museveni era okuwanika bendera yekibiina mu kulonda kwobwa presidenti kubanga emyaka gye gyali gyakuwera 75, ngakyali omukul3embeze we gwanga songa kimenya mateeka.