Skip to content Skip to footer

KCCA esirise ku nsonga z’omwana eyattiddwa

KCCA and husband

Ab’ekitongole kya KCCA bakyagaanye okubaako nekyebanyega ku ki tulakita ekyasse omwana eyabadde azannya .

Olunaku lwajjo omugoba wa ki tulakita kino Patrick Mukwabi yawabye n’ayingirira abaana ababadde bazannya e Lugala mu divizoni ye Lubaga okukkakkana ng’asse omu.

Omusajja ono kigambibwa okuba nga yabadde ayogerera ku ssimu okukoona omwana ono ow’emyaka 2.

Amyuka omwogezi wa KCCA Robert Kalumba agamba bakoze ku by’okuziika byonna naye nga ku by’okuliyirira famire  talina ky’amanyi.

Ku ky’obumanyirivu bw’abagoba b’ebidduka ebya KCCA,  Kalumba era agaanye okunyonyola.

Kino wekigyidde nga n’omwaka tegunnawera ng’omwana omulala ow’emyaka 2 attiddwa motoka ya KCCA.

Leave a comment

0.0/5