Ekitongole ekikola ku mutindo gw’ebintu olwaleero kikoze ekiwkekweto mu maduuka ag’enjawulo agatunda emizigo by’abakyala okujjamu ebicupuli
Bano batuukidde ku kizimbe kya Gazaland ng’eno ebintu obuli kalifuuwa, ebizigo by’okwesiiga n’ebyo mu nviiri byebikwatiddwa
Ebizigo bino ebisinga byaali byayitako emyaaka kkumi emabega
Akulembeddemu ekikwekweto kino Gaston Kironde agamba nti ebintu ebimu byaali byawandiikibwaako mu lulimi lw’ebweru ng’abantu tebasobola kusoma biriko