Bya Benjamin Jumbe
Abalwanirizi be ddembe ly’obuntu bavumiridde ekyomukulembeze we gwanga eyawagidde ekibonerezo kyakalabba.
Bweyabadde agenze okukubagiza aba family yomugenzi Dr. Catherine Agaba, eyawambibwa noluvanyuma nebamutta, Museveni yagambye nti abantu abatemula banaabwe, tebagwana kuweebwayo mukisa gwona nabo basaaka kutibwa awo wennyini.
Wano yasabye palamenti okuleeta ekiteeso okwongera okunyweza ekibonerezo kyakalabba.
Wabula ssenkulu wekitongole kya Foundation for Human Rights Initiative Dr Livingstone Ssewanyana, agambye nti ebigambo bino bimalamu amaanyi, kubanga tewali muntu yenna agwana kuttibwa.
