Skip to content Skip to footer

Pulezidenti Museveni alabudde ku buvuyo- bafunye emidaali

File Photo:Museveni nga yogeerako eri abantu
File Photo:Museveni nga yogeerako eri abantu

Pulezidenti Museveni agumizza abantu nti tewali kigenda kutataaganya mirembe yadde ne mu biseera by’okulonda

Pulezidenti agambye nti waliwo abatandise okutiisatiisa abantu nti okulonda kuggya kubaamu akavuyo kyokka tekisoboka

Ono era agambye nti musanyufu nti eggwanga lyonna litebenkedde nga n’obukiikakkono obwalimu entalo bwatereera kati.

Olunaku luno lukuziddwa ku mulamwa ogugamba nti okukolerera abantu abakulakulana n’eggwanga

Abantu 240 beebawereddwa emidaali ku mikolo gya leero.

Mu basiimiddwa kwekuli bannamawulire Toya Kilama, Peter Swelikeikisa, ne Bert Kakooza an’abalala.

Leave a comment

0.0/5