Bya Abubaker Kirunda
Poliisi mu district ye Luuka eriko omukulu we ssomero gwegalidde, ku kigambibwa nti yasobezza ku muyizi owa S1.
Omukwate mukulu wa sosmeri erimu mu gombolola ye Bulongo nga kigambibwa nti yatikka nomwana ono owemyaka 15 olubuto.
Kino kyadiridde omwana okulwana nga tawona, oluvanyuma lwokujjamu olubuto luno.
Omuddumizi wa poliisi mu district ye Luuka John Bosco akakasizza nti bwebabitegedde nebamukwata, era bamuguddeko gwakujjula bitanajja.