Bya Ruth Anderah
Waliwo omusajja ow’emyaka 26 asindikiddwa mu komera e Luzira agira yebakayo lwakutisatisa kutuusa bulabe ku mukazi gwabadde ayagala okuganza.
Aggaliddwa ye Mbagatuzinde Mahad nga muzimbi ku kyalo Kikulu mu Kampala
Ono avunaniddwa mu kkooti ya City Hall mu maaso g’omulamuzi we daala erisoka Beatrice Kainza neyegaana omusango.
Kigambibwa omusajja ono nga May 28th 2018 ng’ayina ekigendererwa eky’okunyiza Masaka Fatia yamutisatisa okumutusako obulabe.