E Iganga ewaabade okulonda kw’omubaka omukyala owa district agavayo galaga nga munna NRM Brenda Asinde Suubi bweyawangudde banne bonna.
Omukyala ono Asinde afunye obululu 43,197 , songa ye munne Mariam Nantale owa FDC eyamubbe obubi afunye obululu 24,077 bwokka.
Wabula newankubadde guli gutyo ye Nantale ebivude mukulonda byonna ebigaanye , nga agamba nti okulonda kwabademu okubba obululu n’okutisatiisa abalonzi, kale nga yandigendako mu kooti atangaazibwe ku nsonga eno.