Skip to content Skip to footer

Kooti Egobye Wakayima mu Palamaneti Nejjulizaawo Ekifo kye

Bya Ruth Anderah

Kooti ensukulumu egobyeabade omubaka wa munisipaali eye Nansana munna DP Wakayima Musoke, ngomubaka wekitundu kino era ekifo kye kisiddwamu gweyavuganya naye Robert Ssebunya.

Omusango guno guubadde mu maso  g’abalamuzi 3 okubadde amyuka ssabalamuzi Steven Kavuma, Cheborion Barishaki  ne  Hellen Obura  nga bano basazizaamu obuwanguzi bwa Musoke bwebakizudde nti amanya geyakozesa nga yewandiisa ddala kituufu ssi gegali ku ndaga Muntu ye.

Ebiwandiiko kooti byeyesigamyeko biraga nti wakayima yekozesa amanya ga Wakayima Musoke Nsereko, songa ku ndaga Muntu kuliko  Musoke Hannington Nsereko.

Kati wano kooti wesinzidde netegeeza nga Wakayima  bwalina okudayo yetereeze anakomawo ngensonga ziteredde.

Leave a comment

0.0/5