Skip to content Skip to footer

Omutaka Wekika Kye’ngabi Bamuterese

Bya Shamim Nateebwa

Omutaka w’Ekika ky’Engabi, Nsamba Joseph Kamoga Lubega Lukonge aterekeddwa mu kitiibwa ku ttaka ly’obutakabwe e Buwanda Mawokota.

Ng’Obuwangwa bwebulungamya, asibiddwa mu migugu gy’Embugo kikumi (100).

Mu bubaka bwa Ssaabasajja obusomeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga, Beene yebazizza Omutaka olw’okukuuma obulungi eby’obugagga by’Ekika ky’Engabi.

Katikkiro asinzidde wano nasaba abakwatibwako mu kika kino okuwandiisa eby’obugagga by’ekika mu bayima okusobola okubikuuma obutatwalibwa bannakigwanyizi.

Omulairizi we Lugazi eyawummula Mathias Ssekamaanya yakulembeddemu okusaba.

Leave a comment

0.0/5