Bya Sam Ssebuliba
Oluvanyuma lw’ababaka ba parliament abatawagira kiwendo kya kyakujja komo ku myaka gy’amukulembeze wa gwanga okuvaayo olunaku olwe ggulo, nebata akaka, kati olwaleero nebanna NRM bazzizza omuliro nga bagamba nti tebagenda kuva ku mulamwa.
Bwebabadde bogerako ne banamawulire ku parliament bano bagambye nti mu kaseera kano baweze ababaka abawagira ekiteeso kino 265, kwabo 300 bebeetaga, okuyisa ekiteeso kino.
Baweze nti nabo tebajja kukiriza babaka banaabwe abolubattu okubatisatiisa.
Omubaka Evelyn Anite nga yeyaleeta ekiteeso ekya president obutavuganyizibwa mu kulonda kwomunda mu kibiina, agambye nti ababawakanya bamala budde kubanga bbo balina obuwagizi obumala.
Kati ono agamba nti tebayimiriza mu ntekateeka zaabwe ezokukunga obuwagizi ku kiteeso kino, nga sabiiti egya bagenda kutuula mu kabondo ngaba NRM bakaanye ku kyebazaako.