Bya Malikh Fahad
Kooti enkulu e Masaka eriko omusajja owemyaka 22 gwesibye emyaka 39 oluvanyuma lwokusingisbwa emisango gyobutemu.
Darausi Kamulegeya nga mukuumi mu kitongole kyobwanannyini, mu Tiger Security Limited, kooti ekizudde nti yatta Jenifer Omonding, eyali muganzi we ngomusango yaguzza ne munne bwebaali bakola Anyway Quinto.
Omulamuzi Dr Winfred Nabisinde yye munne Quinto yamusiba emyaka 34 mu mwezi ogwomunaana.
Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Amina Akasa lutegezezza kooti nti Kamulegeya yateeka omudumu gwe mmundu ku Dina Opoloti, muganda womugenzi Omonding nalyoka ababulira gyeyali asula gyebamulumba okumutta.
omulamuzi agambye nti amujiddeko omwaka gumu gweyamaze ku alaimanda mu kkomera.