Skip to content Skip to footer

Ebola azzeemu

File Photo: Abasawo nga basomesa abantu kukilwadde kya Eboola
File Photo: Abasawo nga basomesa abantu kukilwadde kya Eboola

Ab’obuyinza wamu n’abatuuze mu ggwanga lya Nigeria batandise okusattira, oluvanyuma lw’ekirwadde kya Ebola okuzuulibwa mu bukiikaddyo  bweggwanga lino.

Kino kizze ngawakayita omwaka mulamba nga Nigeria erangiridde nga bwerinye ekirwadde kino kunfeete.

Abantu 10 bamaze okuzuulibwa n’ekirwadde kino era nga kati bagaaniddwa okutambula.

Waliwo omuntu omu agambibwa okuba nga yafudde dda ekirwadde kino.

Bino bijidde mu kiseera nga ebola yakatta abantu abasoba mu mutwalo 1 mu mawanga omuli Guinea, Sierra Leone ne Liberia.

 

Leave a comment

0.0/5