Skip to content Skip to footer

Ensimbi z’okwesimbawo zeetagisa- babaka

Abamu ku bannakibiina kya NRM basanyukidde ensimbi ezasaliddwa akakiiko k’ebyokulonda eri abagaala okwesimbawo mu kamyufu k’ekibiina.

Akakiiko k’ebyokulonda era kategeezezza nti abo abagala okwesimbawo ku bwa pulezidenti mu kibiina bakusasula obukadde 10, Ssentebe w’ekibiina obukadde 10, ababaka ba palamenti obukadde 2, ate loodimeeya akakadde kamu n’ekitundu.

Ababaka okuli Fred Mwesigye, Patrick Nakabaale ne Simon Mulongo bagambye nti kijja kuyamba okufuna abakulembeze ab’omuzinzi.

Wabula waliwo abantu abagala okwesimbawo omulundi ogusookedde ddala mu kibiina, abagamba nti ensimbi zino nyingi

Leave a comment

0.0/5