Skip to content Skip to footer

Abe Kyambogo bakussa wansi ebikola

Abayambako abasomesa okuva ku ttendekero e Kyambogo bakkiriziganyiza okussa wansi ebikola, okutandika ne wiiki ejja nsonga misaala.

Bano balumiriza abakulira etendekero lino okulemererwa okufulumya alipoota, erina okutunulira emisaala gyabwe.

Mu lukiiiko olwatudde olunaku lw’eggulo bano bassiza kimu, okussa wansi ebikola okutandika n’olusoma olujja.

Ssabawandiisi w’ekibiina ekigatta abakozi bano  Maxson Okello agambye nti bagezeezzako emirundi mingi okusaba alipoota eno okuva mu bakulira ettendekero naye nga butereere.

Mu mwaka gwa  2012, entendekero lyateekawo akakiiko akakulemberwa Huzaifa Mutazindwa, okutunula mu nsonga y’emisaala gy’abasomesa n’abakozi abalala ababayambako.

Leave a comment

0.0/5