Skip to content Skip to footer

Bazadde bo’mwana eyafudde e Mukono bagala obukadde 200

Bya Ivan Ssenabulya

Bazadde b’omugenzi Marvin Kibirige eyakubiddwa amasanyalaze nafa, mu bikwekweto byokusend abasubuzi abayingira amu kkubo mu munispaali ye Mukono, bagala babaliyirire obukadde 200.

Mu bbaluwa gyebawandikidde munispaali ye Mukono, nga bayita mu banmateeka baabwe, Ibaale, Nakato and Company Advocates bagamba  nti abakozi ba munisipali ye Mukono abakwasisa amateeka bakozesezza obulagajjavu bwebasenze obuyumba, waaya zamasanyalaze nebazireka awo ekyaviriddeko omwana waabwe okufa.

Joshua Buyinzaomu kuba puliida yatutte ebbaluwa eno mu wofiisi town clerk Richard Mande, nga waddeko ne mayor George Fred Kagimu copy.

Bagamba nti omwana ono mu kuwanjaga okungi, ataase ebintu bye tebamuwulirizza.

Wabula akulira okukwasiza amateeka mu kibuga kye Mukono James Nsimbi agamba nti tebalina kakwate ku kuffa kw’omwana ono.

Leave a comment

0.0/5