Skip to content Skip to footer

Gwebajja mu lw’okaano kubwa kansala addukidde mu kooti

Bya Ruth Anderah

Omusajja aliko obulemu bwobutawulira addukidde mu kooti enkulu mu Kampala, ngayagala eyise ekiragiro ekiyimiriza okulonda kwa kansala omusajj owabaliko obulemu, mu disitulikiti ye Luwero okugenda okuberawo nga 27 February 2021.

Mu mpaaba ye gyeyatadde mu kooti, Herbert Ssekabira agamba nti bamujja mu lwokaano, akakiiko kebyokulonda wabula mungeri emenya amateeka.

Kino agamba nti kyakolebwa ssentebbe wakakiiko kebyokulonda omulamuzi Simon Byabakama awataali kumuwa mukisa okwenyonyolako.

Ngennaku zomwezi 28 Decemba 2020, omulamuzi Byabakama yawandukulula Sekabira okuva mu lwokaano ngagamba nti yalemwa okulaga obukakafu nti ddala kiggala, songa okulonda kweyetabamu kwabantu abaliko obulemu, nga yesigama ku  tteeka lyabaliko obulemu erya Persons with Disabilities Act of 2019 nalyoka amujja mu lwokaano.

Byabakama yalagira Suuna Mulema bwebaali bavuganya alangirirwe nti yali tavuganyiziddwa.

Okujja Sekabira mu lwokaano kyadirirra okwemulugunya okwatwalibwa mu kakiiko kebyokulonda, ekitongole kya Legal Disability Rights Advocacy nga balumiriza nti Ssekabira talina bulemu bwonna era tayinza kukirirra bantu abaliko obulemu.

Wabula yye Sekabira agamba nti takyawulira, ngobulemu buno yabufuna mu 2002 oluvanyuma lwokutulugunyizbwa aba CMI.

Kati omulamuzi Esta Nambayo yagenda okuwuliriza omusango guno, nga 25 January 2021.

Leave a comment

0.0/5