Skip to content Skip to footer

Kattikiro ali Mawogola mu balimi

Bya Shamim Nateebwa

Olwaleero Katikkiro Charles Peter Mayiga wakweyongeera okulambula abantu ba Ssaabasajja, mu ssaza lye Mawogola, mu Ntekateeka ya Mwanyi Terimba, okubakubiriza okulima emmwanyi.

Eno era agenda kulambula abaganyuddwa mu nteekateeka y’obwakabaka eno, ey’okuwa abantu endokwa z’emmwanyi okulima, begye mu bwavu.

Katikkiro yalamabudde abalimi abawerako okuli, Simon Ssebbowa, Ssekyewa Hilary, Biryabalema Patrick, nabalal n’embuga y’e ssaza ye Mawogola.

Mu kwogera kwe, Katikkiro essira okusinga yalitadde ku bantu okwenyigiramu, bakole nnyo okuzza Buganda ku ntikko.

Mu lugendo luno Katikkiro awerekeddwako, Owek Noah Kiyimba, Owek Henry Kiberu Sekabembe, Owek Mariam Mayanja Nkalubo, Owek Hajji Amis Kakomo, n’abakungu ab’enjawulo abalala.

Leave a comment

0.0/5