Bya Shamim Nateebwa
Bazadde b’omwana eyazaalibwa n’amagulu 4 emitima gikyabeewanise abasawo bwebamulongoosezza ne bamusalako amagulu 2, ate nebakabatema nga bwebakyetaaga akakadde 1 nekitundu.
Ensimbi zino zaakulongoosa kkundi erisuza omwana ng’akaaba olw’obulumi.
Julius Kiiya ne Zulaina Kyakuwaire abatuuze b’e Kisaikye mu gombolola y’e Kidera mu disitulikiti y’e Buyende balimi, wabula essanyu ly’okuzaala lyabagenda mu October wa 2018, bwe baazaala Hadijah Namuganza ng’alina amagulu 4.
Eyakulidde ttiimu y’abasawo abaalongoosezza omwana, aterekeseeko erya Dr. Kakembo wali e Mulago agambye nti abaana ng’ono bajja olw’okutataganyizibwa okubaawo ng’omwana atondebwa mu lubuto.