Bya Yahud Kitunzi
Omukubiriza wa palamenti Rebecca Kadaga asabye kalisoliiso wa gavumenti atanadike okunonyereza ku bulyake, nenguzi ebigambibwa okwetobeka mu bukulembeze bwekibiina kyobwegassi, ekya Bugisu Cooperative Union wansi wa Nathan Nandala Mafabi.
Mafabi nga ye mubaka wa Budadiri West ekisangibwa mu district ye Sironko, era ssbawandiisi wa FDC ekibiina ekivuganya gavumenti, yaddamu nalondebwa omwkaa oguwedde ku kisanja kye, ekyokuna nga ssentebbe wekibiina kino, nga tavuganyiziddwa.
Kino kyadirira okwemulugunya okwaletebwa eri palamenti ku nkomerero yomwaka oguwedde, nti Nandala Mafabi ne banne babaulankanya ensismbi akawumbi 1 nobukadde 129, ezaava amu gavaumenti, okuliyirira ba memba mu mwaka gwa 2015.
Kati Kadaga aliko ebbaluwa gyewandikidde IGG, nga Jan 14, 2019, ayingire mu nsonga zino.