Palamenti yakutuula ku lunaku lwa bbalaza okusiima emirimu egikoleddwa abadde omubaka omukyala owe Bukomansimbi Susan Namaganda.
Namaganda ng’abadde atuula ku kakiiko k’ebyobulimi mu palamenti afudde oluvanyuma lw’okufuna akabenje mu kiro ekikesezza olwalereo ku luguudo lwe Masaka.
Okusinziira ku kiwandiiko ekivudde mu palamenti, omulambo gwa Namaganda gwakutuuka mu palamenti ku ssaawa nnya ez’okumakya abantu bagukube eriiso evvanyuma ate olwo olw’eggulo ku ssaawa munaana ababaka bateese ku birungi by’akoledde eggwanga.
Sipiika Rebecca Kadaga era asinzidde mu kiwandiiko kino n’agumya abenganda z’omugenzi n’eggwanga okutwaliza awamu.
Bbo ababaka ba palamenti abatali bamu baweerezza obubaka obukungubagira Namaganda
Omubaka omukyala owe Luweero Brenda Nabukenya agamba nti omugenzi abadde mulwanirizi w’eddembe lya buntu.
Ono asabye wabeewo okunonyereza ku kabenje omwafiiridde omubaka.
Nabukenya on Namaganda Lug
Yye eyali minisita e Mengo Florence Nakiwala Kiyingi agamba nti eggwanga lifiiriddwa omukulembeze owa maanyi.
Nakiwala on Namaganda Lug
Yye ssabawandiisi wa DP Matia Nsubuga agambye nti bali mu nkiiko n’aba palamenti okulaba nti bamaliriza enteekateeka z’okuziika.
Omulambo gwa Namaganda mu kadde kano gutwaliddwa Mulago okwongera okwekebejjebwa
Namaganda afudde
Yye akulira ekibiina kya DP Namaganda mw’ava nga ye Norbert Mao agamba nti okufa kwa Namaganda kulese ekizikiza era kkonde lya maanyi mu ggwanga.
Mao agamba nti Namaganda yoomu ku bakulembeze abato abakoze obulungi emirimu era nga eggwanga liggya kumusubwa
Ate akulira ekisinde kya Go forward agambye nti okufa kw’omubaka Namaganda kkonde lya maanyi eri abavuganya mu ggwanga.
Omwogezi wa Mbabazi Josephine Mayanja-Nkangi yeeyetisse obubaka bwa mukama we n’agumya ab’enju ye ne famire yonna okutwaliza awamu.
Namaganda eyazaalibwa mu mwaka gwa 1984 afudde wa myaka 31 era nga y’abadde mukyala w’omubaka Fred Mukasa Mbidde.
Yayingira mu palamenti mu mwaka gwa 2011 oluvanyuma lwa Bukomansimbi okukutulwa mu Masaka eya wamu
Alese abaana basatu ng’omukulu wa myaka 3 ate omuto wa myezi musanvu