Skip to content Skip to footer

Ab’eKalungu ne Bukomansimbi babawadde obukadde 400

bya prossy kisakye

Mu kawefube w’okukulakulanya abavubuka ba Buganda ministule y’abavubuka n’enkulakulana y’abantu ekwataganye n’obwakabaka bwa buganda  ng’eyita mu minisitule y’abavubuka okudduukirira abavubuka mu ssaza lye buddu n’ensimbi ez’okwekulaakulanya.

Sente zino obukadde 400 ziwereddwa abavubuka mu district ye kalungu ne Bukomansimbi wansi w’entekateeka y’okukulakulanya abavubuka eya youth livelihood programme

Omukolo guno gukulembeddwamu minisitera wa bavubuka n’abaana mu gavumneti eyawakati owek. Florence Nakiwala kiyingi nga ali wamu ne minisita w’abavubuka mu gavumenti ya beene owek. henry ssekabembe kiberu.

Ensimbi zino zigabanyiziddwa mu bavubuka ba bibinja bibiri okuva e kalungu abafunye obukadde 236 ate 173 n’eziweebwa ab’ebukomansimbi.

Owek henry Ssekabembe asinzidde wano n’asoomooza abavubuka abalina endowooza nti bakyali bato ekibalemesa okukola ebibatwala mu maaso nti bakwejjusa nga basajjakudde.

Ayongedde na bagugumbula ku ngeri gye begulidde erinnya ery’obwassemugayaavu kyagambye nti kyandizaalira eggwanga akabasa gye bujja.

Abavubuka basiimye enteekateeka eno era nebawera okukozesa obulungi ensimbi ezibaweereddwa okwekulaakulanya.

 

Leave a comment

0.0/5