Kkooti enkulu eragidde gavumenti n’abasawo b’eddwaliro ly’e Mulago 2 okusasula obukadde asatumumunaana n’ekitundu eri abafumbo olwobulagajavu nebabasubya essanyu ly’okuzaala ku mwana.
Omulamuzi Elizabeth Musoke akakasizza nti omukyala Kate Namakula okuyulika nabaana n’azaala omwana omufu kyava ku bulagajavu bwa Dr. Nsubuga ne Dr. Mbulangira Peace Mary.
Kanyamugule Siras ne mukyalawe Namakula abokukyalo Lugeye mu tawuni kanso ye Kakiri bagamba nti nga 10th/Feb/2011 bagenda okukebera embeera y’omwana waabwe era olwava mu scana nebabategeeza nga omana bweyali omulamu wabula nga amazzi mu nabaana gaali gakendedde kale nga alina okulongosebwa amangu ddala azaale omwana kubanga olubuto lwali lukulu.

Namakula y’ategeeza nti olwatuuka mu kasenge gyebazalira n’atandika okulumwa enyo mu lubuto n’atukirira Dr Nsubuga n’amusaba amunyonyole lwaki abakyala abajja bebakolwako ye nga atudde awatali amufaako sso nga abaklebwako yali abasoose, omusawo n’amulagira ayongere okulindako.
Wabula oluvanyuma lw’essaawa 3 , omusawo ono Nsubuga ate yakamutema nga ye obudde bwe obwokukola bwebwali buweddeko kale nga alina kulinda musawo mulala okumukolako olunaku oluddako nga 11 Feb 2011.
Omusawo omulala avunanaibwa Dr. Mbulangina Peace Mary naye yamukeberako emirundu 2 ku ssaawa 4 ez’okumakya nekussaawa 1 eyakawungezi wabula naye natamutwala kulongosebwa.
Mukazi wattu zaali ziwera ssaawa 4 ez’ekiro awatali ayamba n’azala omwana nga mufu.
Wano omulamuzi w’asinzidde n’ategeeza nti bano baalagajalira okulongoosa omukyala ono ekyamuvirako okufa kale nga balina okumuliyirira.