
Nga eggwanga lyetegekera okukuza amefuga g’omulundi ogwa 53, gavumenti yakugenda mu maaso n’okubaga enteekateeka n’amateeka agagenda okutwala eggwanga mu maaso okulaba nga bannayuganda bava bangi bava mu ssa lyabamufuna mpola.
Nga ayogerako nebannamawulire , omwogezi wa gavumenti Ofwono Opondo ategezezza nga kino bwekijja okuletawo enkulakulana eri bannayuganda abasinga sso ssi bamunabamu.
Opndo agambye nti gavumenti emyaka kumpi 30 gyeyakamala mu buyinza bingi ebitukiddwako gamba nga obwavu okukendeera.
Ategezezza nga abantu 56% abaalia abaavu wakati wa 1992-1993 bwebakendera okutuuka ku 19.7% wakati wa 2012 – 2013 nga era basubira nti 2016 wegunatukira nga obwavu bweyongeredde ddala okukendeera mu bannayuganda.
Emikolo gy’omwaka guno gyakukwatibwa mu tawuni ye Gulu mu kisaawe kye Kaunda wansi w’omulamwa ogugamba nti “okulafubanira enkulakulana mu bantu n’eggwanga, amakulu g’obwetwaze amatuufu”.