Skip to content Skip to footer

Abavubuka abatazza sente zakwekulakulanya banonyezebwa

Bya Mbogo sadat.

Abavubuka abaatwala ssente za gavumenti okw’ekulaakulanya kyokka nezibalema okuzza mu district ey’e Butambala bibonoonekedde omubaka wa president mu district eno Hajji Badru Ssebyala bw’alagidde bakwatibwe.

Ono abadde alambula emirimu egikolebwa abamu ku bavubuka mu gombolola y’e Budde n’azuula nti bangi ku bavubuka abaweebwa ssente zino baazirya nga zisukka mu bukadde ebikumi 300.

Kati ono alagidde abakulira amagombolola neba  GISO okukolaganira awamu ne police bakwate buli eyalemererwa okuzza ssente za gavumenti bavunaanibwe.

Leave a comment

0.0/5