Skip to content Skip to footer

Eyasobya ku mwana omujjananyina akaligiddwa

Bya Ruth Anderah.

Omusajja ow’emyaka 49 agambibwa okusobya ku mwana omujjananyina ow’emyaka munaana  asimbiddwa mu kkooti enkulu mu Kampala naby’egaana.

Sentongo Henry nga mutuuze we Nateeta mu Gombolola ye Rubaga, agamba bino mukyala we amusibako matu gambuzi kamuliisa ngo kuba ye tasobya nga ku mwana.

Oludda oluwaabi lugamba nti omwana ayogerwako, kitaawe ono Sentongo yamusobyako mu mwaka gwa 2016 maama we bweyali akedde nyo okugenda okukola naaleka omwana n’ekitaawe mu nyumba nga bebase.

Kati omulamuzi Jane Frances Abodo omusango agwongezaayo olunaku lw’enkya.

 

 

Leave a comment

0.0/5